1 Samuel 4:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafilisitiini ne bawulira eddoboozi ly'enduulu, ne bagamba nti: “Eddoboozi lya nduulu nnabaki zino ez'amaanyi mu lusiisira lw'Abeebureeyi?” Bwe baamanya nti Ssanduuku y'Omukama ezze mu lusiisira,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abafirisuuti bwe baawulira oluyoogaano ne beebuuza nti, “Oluyoogaano olwo lwonna mu nkambi ey’Abaebbulaniya lutegeeza ki?” Bwe baategeera nti essanduuko ya Mukama ereeteddwa mu nkambi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abafirisuuti bwe baawulira oluyoogaano mu lusiisira lw'Abaebbulaniya ne bagamba nti, “Oluyoogaano olwo lutegeeza ki?” Nebategeera nti essanduuko ya Mukama etuuse mu lusiisira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafilistiya bwe baawulira okuleekaana okwenkanidde awo, ne beebuuza nti: “Okuleekaana ennyo okwenkanidde awo mu lusiisira lw'Abeebureeyi, kutegeeza ki?” Ne bategeera ng'Essanduuko ya Mukama etuuse mu lusiisira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abafirisuuti bwe baawulira eddoboozi ery'okwogerera waggulu, ne boogera nti Eddoboozi eryo lye boogerera waggulu ennyo mu lusiisira lw'Abaebbulaniya amakulu gaalyo ki? Ne bategeera ng'essanduuko ya Mukama etuuse mu lusiisira.