1 Samuel 4:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafilisitiini ne batya, ne bagamba nti: “Katonda azze mu lusiisira.” Ne bakaaba nga bagamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abafirisuuti ne batya. Ne boogera nti, “Lubaale azze mu nkambi. Tufudde! Tewabangawo kigambo ekifaanana bwe kityo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abafirisuuti ne batya ne bagamba nti, “Katonda atuuse mu lusiisira lwabwe.” Ne bagamba nti, “‘Zitusanze! kubanga ekyo ekigambo ekifaanana bwe kityo tekibangawo.’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abafilistiya ne batya, ne bagamba nti: “Lubaale azze mu lusiisira! Zitusanze ffe, kubanga ekiri ng'ekyo tekibangawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abafirisuuti ne batya kubanga baayogera nti Katonda atuuse mu lusiisira. Ne boogera nti Zitusanze! kubanga obw'edda tewabangawo kigambo ekifaanana bwe kityo.