1 Samuel 4:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Zitusanze! Kino n'okutuusa kati tekibangawo. Zitusanze! Ani anaatuwonya mu mikono gya balubaale ab'amaanyi? Bano be balubaale abaakuba Misiri ebibonoobono ebya buli kika mu ddungu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zitusanze! Ani ayinza okutuwonya balubaale bano ab’amaanyi? Bano be balubaale abaabonyaabonya Abamisiri n’endwadde n’ebibonoobono ebya buli ngeri mu ddungu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ ‘Zitusanze! ani anaatulokola mu mukono ogw'abakatonda abo ab'amaanyi abaabonyaabonya Abamisiri mu ddungu n'ebibonyoobonyo ebya buli ngeri.’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zitusanze! Ani ayinza okutuwonya balubaale abo ab'amaanyi? Abo be balubaale abaabonyaabonya Abamisiri mu ddungu n'ebibonoobono ebya buli ngeri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zitusanze! ani alitulokola mu mukono gwa bakatonda abo ab'amaanyi? Be bakatonda abo abaabonyezabonyeza Abamisiri mu ddungu n'ebibonoobono ebitali bimu.