1 Samuel 5:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ssanduuku ya Katonda ne bagiiweereza e Ekuroni. Ssanduuku ya Katonda bwe yajja mu Ekuroni, abaayo ne baleekaana nti: “Batuleetedde Ssanduuku ya Katonda wa Yisirayeli etutte, ffe n'abantu baffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyebaava baweereza essanduuko ya Katonda mu Ekuloni. Naye essanduuko ya Katonda bwe yali ng’eneetera okutuuka mu Ekuloni, Abaekuloni ne bakaaba nga boogera nti, “Batuleetedde essanduuko ya Katonda wa Isirayiri, okututta n’abantu baffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nabano ne baweereza essanduuko ya Katonda e Ekuloni. Awo olwatuuka, essanduuko ya Katonda bwe yamala okutuuka e Ekuloni, Abaekuloni bonna ne balekana nti, “Batuletedde essanduuko ya Katonda wa Isiraeri okututta ffenna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Essanduuko ya Katonda ne bagiweereza mu Ekurooni. Bwe baagituusa eyo, ab'omu Ekurooni ne baleekaana nti: “Batuleetedde Essanduuko ya Katonda wa Yisirayeli okututta ffenna!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne baweereza essanduuko ya Katonda okugenda e Ekuloni. Awo olwatuuka, essanduuko ya Katonda bwe yatuuka e Ekuloni, Abaekuloni ne boogerera waggulu nga boogera nti Batambuzizza essaaduuko ya Katonda wa Isiraeri ne bagituusa gye tuli, okututta n'abantu baffe.