1 Samuel 5:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kwe kutuma ne bakuŋŋaanya abafuzi b'Abafilisitiini bonna ne bagamba nti: “Muleke Ssanduuku ya Katonda wa Yisirayeli eddeyo mu kifo kyayo, ereme kututta, ffe n'abantu baffe.” Kubanga mu kibuga wonna mwalimu akasattiro olw'okutya okufa; Katonda yali abanyigiriza nnyo eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bakuŋŋaanya abakungu bonna ab’Abafirisuuti, ne babagamba nti, “Muzzeeyo essanduuko ya Katonda wa Isirayiri mu kifo kyayo, ereme kututta ffe n’abantu baffe.” Omukono gwa Katonda gwali gubazitooweredde nnyo era nga bajjudde entiisa ey’okufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne batuma ne bakuŋŋaanya abaami bonna ab'Abafirisuuti ne bagamba nti, “Muzzeeyo essanduuko ya Katonda wa Isiraeri gy'ebeera ereme okututta ffenna;” kubanga entiisa y'okufa yabuna ekibuga kyonna; olw'okubonerezebwa okungi okwali kubatuuseko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne batumira abaami bonna ab'Abafilistiya ne bakuŋŋaana. Ne babagamba nti: “Muzzeeyo Essanduuko ya Katonda wa Yisirayeli gy'ebeera, ereme kututta kutumalawo.” Waaliwo entiisa ey'okufa mu kibuga kyonna, kubanga Katonda yali ababonerezza nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne batuma ne bakuŋŋaanya abaami bonna ab'Abafirisuuti ne boogera nti Musindike essanduuko ya Katonda wa Isiraeri, eddeyo mu kifo kyayo, ereme okututta n'abantu baffe: kubanga okukeŋŋenterera okw'okufa kwabuna ekibuga kyonna; omukono gwa Katonda gwazitowa nnyo eyo.