1 Samuel 5:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkeera ab'e Asudodi bwe baazuukuka, kyababuukako okulaba nga Dagoni yali agudde ku ttaka ku maaso ge mu maaso g'Essanduuku y'Omukama; ne baddira Dagoni ne bamuzza mu kifo kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu ba Asudodi bwe baagolokoka enkeera, baasanga Dagoni agudde mu maaso g’essanduuko ya Mukama. Ne basitula Dagoni ne bamuzzaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasudodi bwe baagolokoka enkya ku makya, laba, nga Dagoni agudde wansi nga yevunise mu maaso g'essanduuko ya Mukama ne bamusitula ne bamuzza mu kifo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasudoodi bwe baagolokoka enkeera ku makya, baasanga Dagoni agudde, nga yeevuunise mu maaso g'Essanduuko ya Mukama. Dagoni ne bamusitula ne bamuzza mu kifo kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasudodi bwe baagolokoka enkya mu makya, laba, Dagoni ng'agudde amaaso ge nga gali wansi mu maaso ga ssanduuko ya Mukama. Ne baddira Dagoni ne bamuzza nate mu kifo kye.