1 Samuel 5:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era enkeera, bwe baazuukuka, laba era baasanga Dagoni ng'agudde ku ttaka ku maaso ge mu maaso g'Essanduuku y'Omukama. Omutwe gwa Dagoni n'ebibatu byombi nga bikutuseeko, biri awo ku mwango, Dagoni ng'asigadde kiwuduwudu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ne bwe baagolokoka enkeera ku lunaku olwaddirira, baasanga Dagoni agudde mu maaso g’essanduuko ya Mukama, ng’omutwe gwe n’emikono gye bikutuseeko nga bigudde mu mulyango, ng’ekiwuduwudu kye, kye kisigaddewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku olwokubiri bwe bagolokoka ku makya era ne basanga nga Dagoni agudde wansi nga yevunise mu maaso g'essanduuko ya Mukama; omutwe gwa Dagoni ne bibatu byombi eby'emikono gye nga bikutuseeko nga bigudde ku mulyango; nga ekiwuduwudu kya Dagoni kye kiri awo kyokka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate bwe baagolokoka mu makya g'olunaku olwaddirira, era ne basanga Dagoni ng'agudde, era nga yeevuunise mu maaso g'Essanduuko ya Mukama, omutwe n'emikono nga bikutuseeko, nga bigudde mu mulyango, Dagoni ng'asigadde kiwuduwudu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baagolokoka olw'okubiri enkya mu makya, laba, Dagoni ng'agudde amaaso ge nga gali wansi mu maaso ga ssaaduuko ya Mukama; n'omutwe gwa Dagoni n'ebibatu byombi eby'emikono gye nga bitemeddwako nga bigalamidde mu mulyango; ekiwududu kya Dagoni kye kyamusigalirawo kyokka.