1 Samuel 5:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukono gw'Omukama ne gunyigiriza n'amaanyi ab'omu Asudodi n'ebitundu byakyo; n'abaleetera ebintu byabwe okwonooneka, n'abakuba ebizimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukono gwa Mukama ne gubonereza abantu b’e Asudodi n’emiriraano, n’abaleetako entiisa era ne bakwatibwa ebizimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omukono gwa Mukama ne guzitoowerera nnyo Abasudodi, n'ebitundu ebiriraanyeewo. N'ababonereza n'abalwaza ebizimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'abonereza nnyo abantu b'omu Asudoodi n'ebitundu ebikyetoolodde, n'abaleetera entiisa, n'abalwaza ebizimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omukono gwa Mukama ne gubazitoowerera Abasudodi, n'abazikiriza, n'abalwaza ebizimba, Asudodi era n'ensalo zaakyo.