1 Samuel 5:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja b'e Asudodi bwe baalaba nga biri bityo, ne bagamba nti: “Ssanduuku ya Katonda w'Abayisirayeli tejja kusigala mwaffe, kubanga omukono gwe gutunyigiriza, gunyigiriza ne Dagoni lubaale waffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu b’e Asudodi bwe baalaba ebyabatuukako ne boogera nti, “Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri teteekwa kusigala wano naffe, kubanga omukono gwe gutuliko era guli ne ku lubaale waffe Dagoni.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abasudodi bwe baalaba ebibatuuseko, ne boogera nti, “Essanduuko ya Katonda wa Isiraeri tejja kubeera mu ffe, kubanga atubonerezza nnyo ffe wamu ne Katonda waffe Dagoni.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasudoodi bwe baalaba ebibatuuseeko, ne bagamba nti: “Essanduuko ya Katonda w'Abayisirayeli tetujja kusigala nayo, kubanga Katonda waabwe atubonerezza nnyo ffe ne lubaale waffe Dagoni.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abasudodi bwe baalaba nga kyali bwe kityo, ne boogera nti Essanduuko ya Katonda wa Isiraeri teribeera naffe: kubanga omukono gwe gutuluma ne Dagoni Katonda waffe.