1 Samuel 5:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baagituusaayo, Omukama ne yeefuulira ekibuga, n'akireetamu akasattiro kanene nnyo; abantu bonna abakulu n'abato n'abaleetera ebizimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe baagituusa eyo, omukono gwa Mukama ne gulwana n’ekibuga ekyo, ne waba okutya kungi nnyo nnyini mu batuuze b’ekibuga ekyo. Abakulu n’abato n’abaleetako ebizimba ku bitundu byabwe eby’ekyama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bwe bagittusaayo, Mukama n'abonereza n'ab'omukibuga ekyo ne batya nnyo n'abalwaza ebizimba ebyafutuuka ku bonna abato n'abakulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka bwe baagituusaayo, Mukama n'abonereza n'ab'omu kibuga ekyo, n'abaleetera entiisa ey'amaanyi era n'abalwaza ebizimba, ebyafuutuuka ku bonna, abato n'abakulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka, bwe baamala okugitambuza, omukono gwa Mukama ne gulwana n'ekibuga ne gubakeŋŋentereza nnyo nnyini: n'alwaza ab'omu kibuga, abato n'abakulu, ebizimba ne bifuutuuka ku bo.