1 Samuel 6:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ente ne zigenda butereevu mu kkubo eriraga e Beti-Semesi; zaakwatira ddala eryo mukungujjo, eno bwe ziŋooŋa, awatali kukyama kudda ku ddyo oba ku kkono. N'abafuzi b'Abafilisitiini baazigoberera okutuukira ddala ku nsalo za Beti-Semesi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ente ne zigenda butereevu mu kkubo erigenda e Besusemesi, nga zigenda zikaaba, ne zitakyama ku mukono ogwa ddyo newaakubadde ogwa kkono. Abakulembeze b’Abafirisuuti ne bazigoberera okutuukira ddala ku nsalo ey’e Besusemesi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ente ne zikwata ekkubo eggolokofu eridda e Besusemesi; zaayita mu luguudo, nga zikaaba nga zigenda, ne zitakyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono; abaami b'Abafirisuuti ne bazigoberera okutuusa ku nsalo ey'e Besusemesi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ente ne zikwata ekkubo eggolokofu erigenda e Betisemesi ne zitambula mu kkubo nga zigenda ziŋooŋa, ne zitakyama ku mukono ogwa ddyo wadde ku gwa kkono. Abaami b'Abafilistiya ne bazigoberera, okutuuka ku nsalo ey'e Betisemesi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ente ne zikwata ekkubo eggolokofu eridda e Besusemesi, zaayita mu luguudo, nga zikaaba nga zigenda, ne zitakyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono; abaami b'Abafirisuuti ne bazigoberera okutuusa ku nsalo eye Besusemesi.