1 Samuel 6:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ab'e Beti-Semesi baali bakesa ŋŋano mu kiwonvu; bwe baasitula amaaso, ne balaba Essanduuku, ne basanyuka okugiraba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebiro ebyo byali bya makungula era Ababesusemesi baali bakungula eŋŋaano yaabwe mu kiwonvu. Bwe balengera essanduuko ne basanyuka okugiraba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'Ababesusemesi baali nga bakungula eŋŋaano yaabwe mu kiwonvu, ne bayimusa amaaso gaabwe ne balaba essanduuko ne basanyuka okugiraba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ab'e Betisemesi baali mu kiwonvu, nga bakungula eŋŋaano yaabwe. Bwe babbulula amaaso, ne balaba Essanduuko y'Endagaano, ne basanyuka okugiraba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'Ababesusemesi baali nga bakungula eŋŋaano Yaabwe mu kiwonvu: ne bayimusa amaaso gaabwe ne balaba essanduuko ne basanyuka okugiraba.