1 Samuel 6:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino bye bizimba ebya zaabu Abafilisitiini bye baaweereza ew'Omukama ng'ekitambiro olw'omusango: Asudodi kimu, Gaza kimu, Esukaloni kimu, Gati kimu ne Ekuroni kimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibumbe eby’ebizimba ebya zaabu Abafirisuuti bye baaweereza ng’ekiweebwayo olw’omusango eri Mukama byali: ekimu kya Asudodi, n’ekirala kya Gaza, n’ekirala kya Asukulooni, n’ekirala kya Gaasi, n’ekirala kya Ekuloni;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibumbe ebya zaabu ebifaanana ebizimba, Abafirisuuti bye baaweereza Mukama okuba ekiweebwayo olw'omusango bye bino; ekya Asudodi kimu, ekya Gaza kimu, ekya Asukulooni kimu, ekya Gaasi kimu, ekya Ekuloni kimu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino bye bibumbe ebya zaabu, ebyakolebwa ng'ebizimba, Abafilistiya bye baaweereza Mukama okuba ebiweebwayo olw'omusango: ekimu olwa Asudoodi, ekimu olwa Gaaza, n'ekimu olwa Asukelooni, ekirala olwa Gaati n'ekirala olwa Ekurooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebizimba ebya zaabu Abafirisuuti bye baaweereza Mukama okuba ekiweebwayo olw'omusango bye bino: ekya Asudodi kimu, ekya Gaza kimu, ekya Asukulooni kimu, ekya Gaasi kimu, ekya Ekuloni kimu;