1 Samuel 6:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Katonda yatta abantu b'e Beti-Semesi olw'okutunula mu Ssanduuku y'Omukama; Omukama yattamu abasajja nsanvu. Abantu ne bakungubaga kubanga Omukama abantu yali abakubye bubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nsanvu ku basajja ab’e Besusemesi ne bafa kubanga balingiza mu ssanduuko ya Mukama. Abantu ne banakuwala nnyo olw’ekibonerezo ekinene Mukama kye yabawa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'atta ku Babesusemesi abantu nsanvu (70), kubanga balingiza mu ssanduuko ya Mukama; abantu ne banakuwala kubanga Mukama yabatta mu abantu bangi nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'atta ab'e Betisemesi nsavu, kubanga baatunula munda w'Essanduuko ye. Abantu ne banakuwala kubanga Mukama yabattamu abantu bangi nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atta ku Babesusemesi, kubanga baali balingizizza mu ssanduuko ya Mukama, n'atta ye ku bantu abasajja obukumi butaano mu nsanvu: abantu ne banakuwala, kubanga Mukama yatta abantu olutta olunene.