1 Samuel 6:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafilisitiini ne bayita bakabona n'abalaguzi, ne bagamba nti: “Ssanduuku y'Omukama tugikolere ki? Mututegeeze nga bwe tunaagizzaayo mu kifo kyayo.” Ne bagamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abafirisuuti ne batumya bakabona n’abafumu, ne bababuuza nti, “Tukolere ki essanduuko ya Mukama? Mututegeeze bwe tuba tugizzaayo mu kifo kyayo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abafirisuuti ne bayita bakabona n'abalaguzi, ne babuuza nti, “Tukole tutya essanduuko ya Mukama? Mututegeeze tunagiweereza naki okugizaayo mu kifo kyayo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abafilistiya ne bayita bakabona n'abalaguzi ne bababuuza nti: “Tukole tutya Essanduuko ya Mukama? Mututegeeze kye tunaagiweererezaako, bwe tunaaba tugiweerezaayo gy'ebeera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abafirisuuti ne bayita bakabona n'abafumu, nga boogera nti Tunaakola tutya essanduuko ya Mukama? tutegeeze bwe tuba tugiweereza okugenda mu kifo kyayo.