1 Samuel 6:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja b'e Beti-Semesi ne bagamba nti: “Ani anaasobola okuyimirira mu maaso g'Omukama Katonda, Omutuukirivu Ono? Ssanduku bw'eva mu ffe eraga waani?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era abantu b’e Besusemesi ne beebuuza nti, “Ani ayinza okuyimirira mu maaso ga Mukama, Katonda ono omutukuvu? Essanduuko ya Mukama tugiweereze ani?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ababesusemesi ne boogera nti, “Ani ayinza okuyimirira mu maaso ga Mukama, Katonda ono omutukuvu? Era anaagenda waani nga atuvuddeko?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ab'e Betisemesi ne bagamba nti: “Ani asobola okuyimirira mu maaso ga Mukama, Katonda ono Omutuukirivu? Era anaagenda w'ani ng'atuvuddeko?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ababesusemesi ne boogera nti Ani ayinza okuyimirira mu maaso ga Mukama Katonda ono omutukuvu? era eri ani gy'alirinnya ng'atuvuddeko?