1 Samuel 6:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba muzzaayo Ssanduuku ya Katonda wa Yisirayeli, temugizzaayo nnangasa, naye muweererezeeko ekitambiro olw'omusango, olwo mujja kuwona, era mujja kumanya ensonga omukono gwe kyeguva gutabaggyibwako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baddamu nti, “Bwe muba muzzaayo essanduuko ya Katonda wa Isirayiri, temugiweereza awatali kirabo, naye mufuba okumuweereza ekiweebwayo olw’omusango. Olwo nno lwe munaawona, era munaabikulirwa Mukama kyeyavudde ababonereza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne babaddamu nti, “Bwe munaaba muweerezaayo essanduuko ya Katonda wa Isiraeri, temujja kugiweerezaayo yokka. Mujja kumuweererezaako ekiweebwayo olw'omusango, lwe munaawona, era ne mutegeera ensonga Mukama kw'abadde asinziira okubabonereza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne babaddamu nti: “Bwe munaaba muweerezaayo Essanduuko ya Katonda wa Yisirayeli, temujja kugiweerezaayo yokka. Mujja kumuweererezaako ekiweebwayo olw'omusango, lwe munaawona, era ne mutegeera ensonga Mukama kw'abadde asinziira okubabonereza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne boogera nti Bwe munaasindika essanduuko ya Katonda wa Isiraeri okugenda, temugisindika njereere; naye temulema kumuweereza ekiweebwayo olw'omusango: ne mulyoka muwona, era kiritegeerwa mmwe ekirobera okubaggyako omukono gwe.