1 Samuel 6:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagamba nti: “Kitambiro ki olw'omusango kye tuteekwa okuweereza?” Ne babaanukula nti: “Anti abafuzi mu Bafilisitiini bali bataano, awo nno mukole ebizimba bitaano ebya zaabu n'emmese ttaano eza zaabu, kubanga ekibonerezo kyakwata mwenna, mmwe n'abafuzi bammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abafirisuuti ne babuuza nti, “Kiki kye tunamuweereza okuba ekiweebwayo olw’omusango?” Ne babaddamu nti, “Ebibumbe eby’ebizimba ebya zaabu bitaano n’ebibumbe eby’emmese eza zaabu bitaano, ng’omuwendo gwa bakulembeze b’Abafirisuuti bwe guli. “Mwabonerezebwa mu ngeri y’emu ng’abakulembeze bammwe n’ensi yammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne babuuza nti, “Kiki kyetunaweereza olw'omusango?” Ne baddamu nti, “Munaweererezaako ebibumbe ebya zaabu bitaano (5), ebibumbiddwa ng'ebizimba, n'ebibumbe ebya zaabu ebirala bitaano (5) ebibumbiddwa ng'emmese, ng'omuwendo gwa buli kika kya bibumbe gwenkana n'omuwendo gw'abaami b'Abafirisuuti kubanga ekibonerezo kyali ku mmwe mwenna ne ku baami bammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafilistiya ne babuuza nti: “Ekiweebwayo olw'omusango kye tunaamuweereza, kinaaba kiki?” Ne baddamu nti: “Ebibumbe ebya zaabu bitaano ebibumbiddwa ng'ebizimba, n'ebibumbe ebya zaabu ebirala bitaano ebibumbiddwa ng'emmese, ng'omuwendo gwa buli kika kya bibumbe gwenkana n'omuwendo gw'abaami b'Abafilistiya, kubanga ekibonerezo kyali ku mmwe mwenna ne ku baami bammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne boogera nti Ekiweebwayo olw'omusango kye tulimuweereza kiriba ki? Ne boogera nti Ebizimba ebya zaabu bitaano n'emisonso egya zaabu etaano, ng'abaami b'Abafirisuuti bwe benkana omuwendo: kubanga ekibonoobono ekimu kyali ku mmwe mwenna ne ku baami bammwe.