1 Samuel 6:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mujja kukola ebifaananyi by'ebizimba byammwe, n'ebifaananyi by'emmese zammwe ezizikiriza ensi; bwe mutyo muliwa Katonda wa Yisirayeli ekitiibwa; mpozzi olwo lw'aliddiriza ku mukono gwe ku mmwe, ku balubaale bammwe ne ku nsi yammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo mukole ebibumbe eby’ebizimba n’eby’emmese ebireetedde ensi okusaanawo, muwe Katonda wa Isirayiri ekitiibwa; oboolyawo anaabasonyiwa, ne balubaale bammwe n’ensi yammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muteekwa okukola ebibumbe by'ebizimba byammwe n'ebibumbe bye mmese zammwe ezoonoona ensi; era muteekwa okuwa ekitiibwa Katonda wa Isiraeri, oboolyawo anaabaggyako okubonerezebwa; mmwe ne ku bakatonda bammwe ne ku nsi yammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukole ebibumbe ebifaanana ebizimba byammwe, n'ebifaanana emmese ezaayonoona ensi yammwe. Era muwe Katonda wa Yisirayeli ekitiibwa, osanga alibaddiramu mmwe ne balubaale bammwe era n'ensi yammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyemunaava mwekolera ebifaananyi by'ebizimba byammwe n'ebifaananyi by'emisonso gyammwe egyonoona ensi; era muliwa ekitiibwa Katonda wa Isiraeri: mpozzi aliggya omukono gwe ku mmwe ne ku bakatonda bammwe ne ku nsi yammwe.