1 Samuel 6:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mugikuumise amaaso; bw'enekkirira n'ekwata ekkubo eriraga mu nsi yaabwe, n'edda e Beti-Semesi, nga Omukama ye yatukola akabi akanene kati; bwe gutaabe gutyo, tunaamanya nti si mukono gwe gwe gwatukuba, wabula kyaguddewo bugwi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mugitunuulire; bw’eneekwata ekkubo erigenda ewaabayo mu nsi yaayo, e Besusemesi, olwo nga Mukama ye yatuleeseeko ekibonoobono kino ekinene. Naye bwe kitaabe bwe kityo, olwo tunaategeera ng’omukono gwe si gwe gutubaddeko, kyatutuukako butuusi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mutunule bweneyambukira mu kkubo eriraga e Besusemesi mu nsi yaayo gye beera, awo munategeera nga Katonda wa Isiraeri yeyatubonereza. Naye bwe kitaabe bwe kityo, munategeera nti ebibonerezo ebyatutukako; byatugwira bugwizi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mutunule, bw'eneeyambukira mu kkubo eriraga e Betisemesi mu nsi yaayo, olwo kinaategeerekeka nti Katonda w'Abayisirayeli ye yatubonereza. Naye bwe kitaabe bwe kityo, nga tutegeera nti ebibonerezo ebyatutuukako, byatugwira bugwizi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mutegeere, bw'eryambukira mu kkubo ery'ensalo yaayo okugenda e Besusemesi, awo nga ye yatukoze ekibi kino ekinene: naye bwe kitaliba bwe kityo, awo tulitegeera ng'omukono gwe si gwe gwatukuba; kyatugwira bugwizi.