1 Samuel 7:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja b'e Kiriyati-Yewarimu ne bajja, ne bakima Ssanduuku y'Omukama, ne bagiyingiza mu nnyumba ya Abinadabu, ku kasozi; ne batukuza Eleyazari mutabani we akuume Ssanduuku y'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu b’e Kiriyasuyalimu ne bajja ne baddukira essanduuko ya Mukama, ne bagitwala mu nnyumba ya Abinadaabu ku lusozi. Ne bayawula Eriyazaali mutabani we okuvunaanyizibwa essanduuko ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abakiriyasuyalimu ne bajja ne baddukira essanduuko ya Mukama, ne bagireeta mu nnyumba ya Abinadaabu ku lusozi, ne batukuza Eriyazaali mutabani we okukuumanga essanduuko ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu b'e Kiriyati Yeyariimu ne banona Essanduuko ya Mukama, ne bagitwala mu nnyumba ya Abinadabu, eyali ku kasozi. Ne baawula mutabani we Eleyazaari okugikuumanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abakiriyasuyalimu ne bajja ne baddukira essanduuko ya Mukama, ne bagireeta mu nnyumba ya Abinadaabu ku lusozi, ne batukuza Eriyazaali mutabani we okukuumanga essanduuko ya Mukama.