1 Samuel 7:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli yali akyaweereza ekitambiro ekyokye, Abafilisitiini ne basembera okutanula olutalo ku Bayisirayeli. Ku olwo Omukama n'abwatukira nnyo Abafilisitiini nga laddu mu ddoboozi eddene, bonna ne babuna emiwabo, ne bafufuggazibwa mu maaso ga Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo Samwiri bwe yali ng’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, Abafirisuuti ne basembera okulwanyisa Isirayiri, naye Mukama n’abwatuka okubwatuka okw’amaanyi, Abafirisuuti ne batya nnyo, era ne badduka Abayisirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samwiri bwe yali ng'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Abafirisuuti ne basembera okulwana ne Isiraeri; naye Mukama n'abwatuka okubwatuka okunene ku Bafirisuuti ku lunaku olwo n'abatiisa nnyo ne batabukatabuka ne badduka mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Samweli bwe yali awaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Abafilistiya ne basemberera Abayisirayeli babalwanyise. Naye Mukama n'abwatukira Abafilistiya n'eddoboozi ery'amaanyi ku lunaku olwo. Abafilistiya ne babutaabutana olw'okutya, era ne badduka Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samwiri ng'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Abafirisuuti ne basembera okulwana ne Isiraeri: naye Mukama n'abwatuka okubwatuka okunene ku lunaku olwo ku Bafirisuuti n'abakeŋŋentereza; ne bameggebwa wansi mu maaso ga Isiraeri.