1 Samuel 7:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'addira ejjinja n'alisimba mu makkati ga Mizupa ne Seni, ekifo ekyo n'akiyita Ebeni Azeri ng'agamba nti: “Omukama y'atuyambye n'okutuusa kati.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Samwiri n’addira ejjinja n’aliteeka wakati wa Mizupa ne Seni, ekifo ekyo n’akituuma Ebenezeri, ng’agamba nti, “ Mukama atuyambye okutuusa kaakano.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samwiri n'addira ejjinja, n'alisimba wakati w'e Mizupa ne Seni, n'alituuma erinnya lyalyo Ebenezeri, ng'ayogera nti, “Okutuusa kaakano Mukama atubedde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Samweli n'addira ejjinja, n'alisimba wakati wa Mizupa ne Seni, n'alituuma erinnya Ebenezeri ng'agamba nti: “Mukama atuyambye, okutuusa kaakano.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samwiri n'addira ejjinja, n'alisimba wakati w'e Mizupa ne Seni, n'alituuma erinnya lyalyo Ebenezeri, ng'ayogera nti Okutuusa kaakano Mukama atubedde.