1 Samuel 7:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafilisitiini ne bawangulwa, era tebaagezaako nate kulumba nsi y'Abayisirayeli. Omukono gw'Omukama ne gunyigiriza Abafilisitiini ebbanga lyonna ery'obulamu bwa Samweli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abafirisuuti ne bawangulwa, ne bataddayo nate kulumba Isirayiri. Era ennaku zonna eza Samwiri, omukono gwa Mukama ne gunyigiriza Abafirisuuti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abafirisuuti ne bawangulwa bwe batyo, ne bataddayo lwa kubiri kulumba Isiraeri. Era omukono gwa Mukama gwalwana n'Abafirisuuti ennaku zonna eza Samwiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe batyo Abafilistiya ne bawangulwa, era Mukama n'atabaganya kulumba nsi ya Bayisirayeli ebbanga lyonna, Samweli lye yamala nga mulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abafirisuuti ne bajeemululwa bwe batyo, ne batatuuka lwa kubiri mu nsalo ya Isiraeri: n'omukono gwa Mukama gwalwana n'Abafirisuuti ennaku zonna eza Samwiri.