1 Samuel 7:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibuga, okuva ku Ekuroni okutuuka ku Gati, Abafilisitiini bye baali banyaze ku Yisirayeli, ne biddizibwa Yisirayeli; n'ebitundu byabyo Yisirayeli n'abiggya mu mukono gw'Abafilisitiini. Ne wakati wa Yisirayeli n'Abaamori lyali ddembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri ne beddiza ebibuga byonna Abafirisuuti bye baali babawambyeko okuva mu Ekulooni okutuuka e Gaasi, ate era Isirayiri n’anunula ebitundu ebyali biriraanyeewo okuva mu buyinza bw’Abafirisuuti. Ne waba okutabagana wakati wa Isirayiri n’Abamoli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibuga byonna Abafirisuuti bye baali bawambye ku Baisiraeri, ne bibaddira, okuva ku Ekuloni okutuuka e Gaasi. Bwe batyo Abaisiraeri ne beddiza ebitundu byabwe byonna, okuva ku Bafirisuuti. Era ne wabaawo emirembe wakati w'Abaisiraeri n'Abamoli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibuga byonna Abafilistiya bye baali bawambye ku Bayisirayeli, ebiri wakati wa Ekurooni ne Gaati, ne bibaddira. Bwe batyo Abayisirayeli ne beddiza ebitundu byabwe byonna, okuva ku Bafilistiya. Era ne wabaawo emirembe wakati w'Abayisirayeli n'Abaamori.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebibuga Abafirisuuti bye baali baggye ku Isiraeri ne bizzibwa eri Isiraeri okuva ku Ekuloni okutuusa ku Gaasi; n’ensalo yaabyo Isiraeri n’agiggya mu mukono gw'Abafirisuuti. Ne Isiraeri n'Abamoli ne baba n'emirembe.