1 Samuel 7:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
oluvannyuma yaddanga e Rama ewaabeeranga ennyumba ye, eyo nayo yalamulirangayo Yisirayeli. Era eyo yazimbirayo Omukama omwaliiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oluvannyuma yakomangawo e Laama, amaka ge gye gaabeeranga, nayo n’alamulirayo Isirayiri. N’azimbirayo Mukama ekyoto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'addangayo e Laama kubanga ye yali ennyumba ye; n'alamulira eyo Isiraeri, n'azimba eyo ekyoto eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'addangayo e Raama, kubanga amaka ge gye gaabeeranga. N'alamuliranga eyo Yisirayeli, era n'azimbayo alutaari ya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addangayo e Laama kubanga ye yali ennyumba ye; n’alamulira eyo Isiraeri: n'azimba eyo ekyoto eri Mukama.