1 Samuel 7:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebiro byayitawo bingi nga Ssanduuku y'Omukama eri mu Kiriyati-Yewarimu, emyaka gyawera amakumi abiri; ennyumba yonna eya Yisirayeli n'eraajanira Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Essanduuko n’emala mu Kiriyasuyalimu ebbanga ddene, eryawerera ddala emyaka amakumi abiri, era abantu b’ennyumba ya Isirayiri bonna baali banakuwavu era nga banoonya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuva ku lunaku essanduuko ya Mukama, lwe y'abeera mu Kiriyasuyalimu, wayitawo ekiseera kiwanvu, gyali emyaka abiri (20), n'ennyumba ya Isiraeri yonna ne bakaabirira Mukama nga bamunoonya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ssanduuko ya Mukama, n'ebeera mu Kiriyati Yeyariimu, okumala ekiseera kiwanvu: gyali emyaka amakumi abiri. Ekiseera ekyo, Abayisirayeli bonna ne bakimala nga bakaabirira Mukama abayambe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka okuva ku lunaku essanduuko bwe yabeera mu Kiriyasuyalimu, ne wabaawo ekiseera kinene; kubanga gyali emyaka abiri n'ennyumba ya Isiraeri yonna ne banoonya Mukama nga banakuwala.