1 Samuel 7:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'agamba ennyumba ya Yisirayeli yonna nti: “Oba muddidde ddala eri Omukama n'omutima gwammwe gwonna, mweggyeeko balubaale ne Baasutoreti, muleke emitima gyammwe Omukama agyeekomye, yekka ye gwe muba muweereza, olwo alibaggya mu mikono gy'Abafilisitiini.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Samwiri n’agamba ennyumba ya Isirayiri yonna nti, “Obanga mudda eri Mukama n’omutima gumu, muggyeewo bakatonda abagwira ne Baasutoleesi, mmweweeyo eri Mukama gwe muba muweerezanga yekka, era anaabalokola okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samwiri n'agamba ennyumba ya Isiraeri yonna nti, “Oba nga mukomawo eri Mukama n'omutima gwammwe gwonna, kale muggyeewo bakatonda abalala ne Baasutaloosi bave mu mmwe, muteekereteekere Mukama emitima gyammwe, mumuweereze yekka, naye alibalokola mu mukono gw'Abafirisuuti.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Samweli n'agamba Abayisirayeli bonna nti: “Mukyuke mudde eri Mukama n'emitima gyammwe gyonna. Muggyewo balubaale bonna, n'ebifaananyi bya lubaale omukazi Asitarooti. Mweweereyo ddala eri Mukama, era gwe muba muweereza yekka, alibawonya Abafilistiya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samwiri n'agamba ennyumba ya Isiraeri yonna nti Oba nga mukomawo eri Mukama n'omutima gwammwe gwonna, kale muggyeewo bakatonda abagenyi ne Baasutaloosi bave mu mmwe, muteekereteekere Mukama emitima gyammwe, mumuweereze yekka: naye alibalokola mu mukono gw'Abafirisuuti.