1 Samuel 7:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ba Yisirayeli ne beggyako Babaali ne Baasutoreti, ne baweereza Omukama yekka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abayisirayiri ne bava ku Babaali ne Baasutoleesi, ne baweerezanga Mukama yekka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba Isiraeri ne balyoka baggyawo Babaali ne Baasutaloosi, ne baweereza Mukama yekka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayisirayeli ne baggyawo ebifaananyi bya balubaale, Baali ne Asitarooti, ne baweereza Mukama yekka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Isiraeri ne balyoka baggyawo Babaali ne Baasutaloosi, ne baweereza Mukama yekka.