1 Samuel 7:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bakuŋŋaanira e Mizupa; ne basena amazzi ne bagayiwa mu maaso g'Omukama. Ku olwo ne basiiba, ne beenenya nti: “Twasobya eri Omukama.” Samweli ye yali alamula Abayisirayeli e Mizupa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baali bakuŋŋaanidde e Mizupa, ne basena amazzi, ne bagayirira mu maaso ga Mukama, ne basiiba era ne baatula ebibi byabwe nga boogera nti, “Twonoonye eri Mukama.” Olwo Samwiri nga ye mukulembeze era omulamuzi wa Isirayiri e Mizupa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bakuŋŋaanira e Mizupa, ne basena amazzi era ne bagayiwa mu maaso ga Mukama, era ne basiiba ku lunaku olwo, ne boogerera eyo nti, “Twasobya ku Mukama.” Samwiri n'alamulira abaana ba Isiraeri Mizupa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bakuŋŋaanira e Mizupa, ne basena amazzi era ne bagayiwa ku ttaka, nga go kye kiweebwayo eri Mukama. Ne basiiba ku lunaku olwo. Ne bagamba nti: “Twakola ekibi eri Mukama.” Eyo e Mizupa Samweli gye yalamulira Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bakuŋŋaanira e Mizupa, ne basena amazzi, ne bagafuka mu maaso ga Mukama, ne basiiba ku lunaku olwo, ne boogerera eyo nti Twasobya ku Mukama. Samwiri n'alamulira abaana ba Isiraeri e Mizupa.