1 Samuel 7:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bagamba Samweli nti: “Tolekera awo kulaajanira Mukama Katonda waffe, atuwonye mu mikono gy'Abafilisitiini.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bagamba Samwiri nti, “Tolekeraawo kutukaabiririra eri Mukama Katonda waffe, atulokole okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri ne bagamba Samwiri nti, “Tolekerawo kukaabirira Mukama Katonda waffe ku lwaffe atulokole mu mukono gw'Abafirisuuti.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagamba Samweli nti: “Nyiikirira okwegayirira Mukama Katonda waffe, atuwonye obulumbaganyi bw'Abafilistiya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri ne bagamba Samwiri nti Toleka kukaabira Mukama Katonda waffe ku lwaffe atulokole mu mukono gw'Abafirisuuti.