1 Samuel 7:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'addira akaliga akalume akayonka n'akaweereza konna Omukama ng'ekitambiro ekyokye; Samweli n'alaajanira Omukama olwa Yisirayeli, Omukama n'amuwuliriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Samwiri n’addira omwana gw’endiga oguyonka n’aguwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, n’akaabirira Mukama ku lwa Isirayiri, Mukama n’amuddamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samwiri n'addira omwana gw'endiga oguyonka, n'aguwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekiramba eri Mukama; Samwiri n'akaabira Mukama ku lwa Isiraeri, era Mukama n'amuddamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Samweli n'addira endiga ento ekyayonka, n'agiwaayo, nga kye kiweebwayo ekyokebwa eri Mukama. N'akaabirira Mukama ng'amusaba ayambe Abayisirayeli, era Mukama n'amuwa ky'amusaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samwiri n'addira omwana gw'endiga oguyonka n’aguwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekiramba eri Mukama: Samwiri n'akaabira Mukama ku lwa Isiraeri: Mukama n'amuddamu.