1 Samuel 8:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: “Kabaka anaabafuga bino by'ajja okubakola: ajja kussa batabani bammwe ku kulabirira ebigaali bye n'embalaasi ze; banaddukanga nga bakulembeddemu ebigaali bye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Bino bye bintu kabaka alibafuga by’alibakola: alitwala batabani bammwe n’abafuula abagoba ab’amagaali ge n’abeebagazi ab’embalaasi ze, n’abamu okuddukiranga mu maaso ag’amagaali ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abannyonnyola nti, “Eno ye ngeri kabaka wammwe gy'alibayisaamu, batabani bammwe alibayingiza mu maggye ge, abamu ne bakola mu magaali ge, abalala ne beebagala embalaasi ze n'abalala nga ba bigere, abakulemberamu amagaali ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abannyonnyola nti: “Eno ye ngeri kabaka wammwe gy'alibayisaamu: batabani bammwe alibayingiza mu magye ge, abamu ne bakola mu magaali ge, abalala ne beebagala embalaasi ze, n'abalala nga ba bigere, abakulemberamu amagaali ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Bw'ati bw'alifaanana kabaka alibafuga: alitwala batabani bammwe n'abeewandiikira olw'amagaali ge era okuba abasajja be abeebagala embalaasi; awo banaddukiranga mu maaso g'amagaali ge: