1 Samuel 8:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abamu ajja kubafuula bagabe ba bibinja eby'enkumi n'eby'ekikumi, abalala balimenga mu nnimiro ze n'okukungulanga mu makungula ge; abandi abasse ku gw'okuweesa eby'okulwanyisa n'ebyuma eby'oku bigaali bye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamu ku bo alibafuula abaduumizi b’enkumi, n’abalala n’abafuula abaduumizi b’ataano, n’abalala okumulimiranga ennimiro ze n’okuzikungulanga, n’abalala okuweesanga ebyokulwanyisa n’ebintu eby’amagaali ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu alibalonda okuba abaduumizi b'ebibinja by'abaserikale olukumi lukumi, n'abalala okuduumira ebibinja by'abaserikale ataano ataano. Era abamu balirima ennimiro ze, ne bakungula ebirime bye, abalala ne baweesa eby'okulwanyisa, n'ebikozesebwa ku magaali ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamu alibalonda okuba abaduumizi b'ebibinja by'abaserikale olukumi lukumi, n'abalala okuduumira ebibinja by'abaserikale amakumi ataano ataano. Era abamu balirima ennimiro ze, ne bakungula ebirime bye, abalala ne baweesa ebyokulwanyisa, n'ebikozesebwa ku magaali ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era alibeewandiikira okuba abaami b'enkumi n’abaami b'ataano; era alissaawo abamu okulima ensi ye n'okukungula ebikungulwa bye, n'okuweesa ebintu bye ebyokulwanyisa n'ebintu eby'omu magaali ge.