1 Samuel 8:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ajja kutwala bawala bammwe bakolenga omuzigo ogw'okusaaba, bafumbenga, era bakolenga emigaati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alitwala bawala bammwe, okumuteekerateekera ebyakaloosa, n’okumufumbiranga, n’okumukoleranga emigaati.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka alitwala bawala bammwe okumukoleranga eby'obuwoowo, n'okumufumbiranga emmere n'emigaati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka alitwala bawala bammwe okumukoleranga ebyobuwoowo, n'okumufumbiranga emmere n'emigaati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era alitwala bawala bammwe okufumbanga eby'akaloosa era okuba abafumbiro era okuba abasiisi.