1 Samuel 8:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amagana gammwe wa kuggyangako ekyekkumi, nammwe mulifuuka baddu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alitwala ekimu eky’ekkumi ku bisibo byammwe, mmwe n’abafuula abaweereza be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alitwala ekitundu kimu kya kkumi eky'amagana gammwe, era nammwe mwennyini muliba abaddu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alitwala ekitundu kimu kya kkumi eky'amagana gammwe, era nammwe mwennyini muliba abaddu be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alitwala ekitundu eky'ekkumi eky'endiga zammwe: era muliba baddu be.