1 Samuel 8:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Samweli nti: “Wuliriza kye bagamba obawe kabaka.” Samweli n'asiibula abantu ba Yisirayeli nti: “Buli omu adde mu kibuga kye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’addamu Samwiri nti, “Bawulirize obalondere kabaka.” Awo Samwiri n’agamba abantu ba Isirayiri nti, “Buli omu ku mmwe addeyo ewuwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'agamba Samwiri nti, “Wulira eddoboozi lyabwe obalondere kabaka.” Samwiri n'agamba abasajja ba Isiraeri nti, “Muddeyo buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'addamu nti: “Kola kye baagala, obateerewo kabaka.” Awo Samweli n'agamba Abayisirayeli nti: “Buli omu addeyo mu kibuga ky'ewaabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'agamba Samwiri nti Wulira eddoboozi lyabwe obakolere kabaka. Samwiri n'agamba abasajja ba Isiraeri nti Muddeeyo buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe.