1 Samuel 8:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye batabani be tebaatambulira mu makubo ge; baawugulwa omululu gw'okufuna, ne balya enguzi, era nga basaliriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye batabani be ne batagoberera mpisa ze, ne bakyama ne banoonya amagoba, ne balya enguzi, era nga tebalamula mu bwenkanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani be ne batatambulira mu makubo ge ne banoonya okufuna ebintu, ne balya enguzi, ne misango ne batagisalanga mu bwenkanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye batabani ba Samweli ne batagoberera kyakulabirako kya kitaabwe, ne beemaliranga mu kufuna nsimbi na kulya nguzi, n'emisango ne batagisalanga mu bwenkanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Batabani be ne batatambulira mu makubo ge, naye ne bakyama okugoberera ebintu, ne balya enguzi, ne balya ensonga.