1 Samuel 8:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bamugamba nti: “Wuuno ggwe okaddiye n'abaana bo tebatambulira mu makubo go, kale nno tuteerewo kabaka y'aba atulamula nga bwe kiri mu mawanga gonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bamugamba nti, “Laba, okaddiye ne batabani bo tebagoberera mpisa zo, kaakano tulondere kabaka anaatukulemberanga, tubeere ng’amawanga amalala gonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bamugamba nti, “Laba, ggwe okaddiye, ne batabani bo tebatambulira mu makubo go; kale tulondere kabaka atufugenga ng'amawanga amalala gonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamugamba nti: “Okaddiye, ne batabani bo tebakyagoberera bikolwa byo. Kale tulondere kabaka, tufugibwe ng'amawanga amalala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bamugamba nti Laba, ggwe oli mukadde, ne batabani bo tebatambulira mu makubo go: kale tukolere kabaka atulamulenga ng'amawanga gonna.