1 Samuel 8:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baagamba nti: “Tuteerewo kabaka atulamule,” ebigambo ebyo ne bitasanyusa Samweli; Samweli ne yeegayirira Omukama;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe baayogera nti, “Tuwe kabaka anaatukulemberanga,” ne kitasanyusa Samwiri. Samwiri n’asaba eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ekigambo ekyo ne kinyiiza Samwiri, bwe baayogera nti, “Tulondere kabaka atufugenga.” Samwiri n'asaba Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eky'okugamba nti: “Tuwe kabaka atulamulenga,” ne kinyiiza Samweli. Samweli n'akyebuuza ku Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ekigambo ekyo ne kinyiiza Samwiri, bwe baayogera nti Tuwe kabaka atulamulenga. Samwiri n'asaba Mukama.