1 Samuel 8:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Samweli nti: “Abantu bawulirize mu byonna bye bakugamba; si ggwe gwe bagaanyi, wabula nze gwe bagaanyi okuba kabaka waabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Samwiri nti, “Wuliriza ebigambo byonna abantu bye bakugamba. Tebajeemedde ggwe, naye bajeemedde nze nneme kuba kabaka waabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Samwiri nti, “Wulira eddoboozi ly'abantu mu byonna bye bakugamba, kubanga tebakugaanyi ggwe, naye bagaanyi nze, okuba kabaka waabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Samweli nti: “Wuliriza ebyo byonna abantu bye bakugamba, kubanga tebagaanye ggwe, wabula bagaanye nze okuba kabaka waabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Samwiri nti Wulira eddoboozi ly'abantu mu byonna bye bakugamba: kubanga tebakugaanyi ggwe, naye bagaanyi nze, nneme okuba kabaka waabwe.