1 Samuel 9:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Benyamiini mwalimu omusajja, erinnya lye Kisi, mutabani wa Abiyeli, mutabani wa Zerori, mutabani wa Bekorati, mutabani wa Afiya, Omubenyamiini, nga musajja mugagga
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo omusajja Omubenyamini eyali omututumufu erinnya lye Kiisi, mutabani wa Abiyeeri, mutabani wa Zeroli, mutabani wa Bekolaasi, mutabani wa Afiya, Omubenyamini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo waaliwo omusajja wa Benyamini, erinnya lye Kiisi, mutabani wa Abiyeeri, Abiyeeri mutabani wa Zeroli, Zeroli mutabani wa Bekolaasi, ne Bekolaasi mutabani wa Afia Omubenyamini, omusajja ow'amaanyi omuzira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo omusajja ow'amaanyi era omuzira ow'omu kitundu kya Benyamiini, erinnya lye Kiisi, mutabani wa Abiyeeli, Abiyeeli mutabani wa Zerori, Zerori mutabani wa Bekorati, Bekorati mutabani wa Afiya Omubenyamiini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo waaliwo omusajja wa Benyamini, erinnya lye Kiisi, mutabani wa Abiyeeri, mutabani wa Zeroli, mutabani wa Bekolaasi, mutabani wa Afia omwana w'Omubenyamini, omusajja ow'amaanyi omuzira.