1 Samuel 9:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baali bambuka akasozi okulaga mu kibuga, ne basanga abawala nga bafuluma okukima amazzi, ne bababuuza nti: “Muno mulimu omulabi?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baali nga balinnyalinnya akasozi okugenda mu kibuga ne basisinkana abawala abaali bagenda okusena amazzi, ne bababuuza nti, “Omulabi gy’ali?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baali balinnya awayambukirwa mu kibuga, ne basanga abawala abato nga bafuluma okusena amazzi, ne babagamba nti, “Omulabi wali wano?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baali balinnyalinnya akasozi batuuke mu kibuga, ne basisinkana abawala abaali bava mu kibuga, nga bagenda okusena amazzi, ne bababuuza nti: “Omulabi gy'ali?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baali balinnya awayambukirwa mu kibuga, ne basanga abawala abato nga bafuluma okusena amazzi, ne babagamba nti Omulabi ali wano?