1 Samuel 9:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne baanukula nti: “Mw'ali; akuli awo mu maaso. Mwanguyire; azze olwa leero mu kibuga, kubanga olwa leero waliwo ekitambiro ky'abantu eri ku kifo ekigulumivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne babaddamu nti, “Gy’ali. Ali mu maaso awo. Mwanguweeko, yaakatuuka kati mu kibuga, kubanga leero abantu balina ssaddaaka ey’okuweerayo mu kifo ekigulumivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abawala ne babaddamu nti, “Waali era laba abakulembeddemu mwanguwe, yakatuuka mu kibuga, kubanga leero abantu balina okuwaayo ssaddaaka mu kifo ekigulumivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abawala ne babaddamu nti: “Gy'ali, era wuuyo abakulembeddemu. Mwanguwe, yaakatuuka mu kibuga, kubanga olwaleero, abantu bagenda kuwaayo kitambiro mu kifo ekigulumivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne babaddamu ne boogera nti Waali; laba, ali mu maaso go: yanguwa nno, kubanga atuuse mu kibuga leero; kubanga abantu balina ssaddaaka leero mu kifo ekigulumivu: