1 Samuel 9:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe munaaba muyingira muti mu kibuga, mujja kumusanga nga tannayambuka mu kifo ekigulumivu okulya; anti abantu tebayinza kulya ye nga tannatuuka, kubanga alina okuwa ekitambiro omukisa, ababa bayitiddwa ne balyoka balya. Mwambuke mangu; mujja kumusanga mu kadde kano.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe munaaba nga mwakayingira mu kibuga, mujja kumusisinkana nga tannayambuka kuliira mu kifo ekigulumivu. Abantu tebajja kulya nga tannatuuka, kubanga alina okusabira ssaddaaka omukisa n’oluvannyuma abayitiddwa balyoke balye. Kaakano mwanguwe mugende, mujja kumusisinkana.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amangu nga mwakayingira mu kibuga, munaamulaba nga tannaba kwambuka mu kifo ekigulumivu okulya; kubanga abantu tebaalye nga tannatuuka, kubanga ye yasabira ssaddaaka omukisa; olwo abaayitiddwa ne balyoka balya. Kale nno kaakano mwambuke mujja kumulaba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangu ddala nga mwakayingira ekibuga mujja kumulaba nga tannayambuka mu kifo ekigulumivu okulya. Abantu tebajja kulya nga tannatuuka, kubanga ye asabira ekitambiro omukisa, olwo abantu abayitiddwa ne balyoka balya. Kale kaakano mwambuke, mujja kumulaba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe munaaba nga mutuuse mu kibuga, munaamulaba mangu ago, nga tannaba kwambuka mu kifo ekigulumivu okulya: kubanga abantu tebaalye nga tannajja, kubanga ye asabira ssaddaaka omukisa; awo abaayitibwa ne balyoka balya. Kale nno kaakano mwambuke; kubanga kaakano lwe munaamulaba.