1 Samuel 9:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bambuka mu kibuga. Baali bayingira bati mu kibuga, nga ku Samweli ono; yali afuluma ng'ajja gye bali, ayambuke ku kifo ekigulumivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bayambuka okugenda mu kibuga. Bwe baali bakiyingira ne balaba Samwiri ng’ajja gye bali, ng’ayolekedde ekifo ekigulumivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'omuddu we ne bagenda mu kibuga. Bwe baali nga bakiyingiramu, ne balaba Samwiri ng'afuluma ng'ajja gyebali, bwe yali ng'agenda mu kifo ekigulumivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sawulo n'omuweereza we ne bagenda mu kibuga. Bwe baali nga bakiyingiramu, ne balaba Samweli ng'afuluma ng'ajja gye bali, bwe yali ng'agenda mu kifo ekigulumivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bambuka mu kibuga; awo bwe baali bayingira mu kibuga, laba, Samwiri n'afuluma okuboolekera, okwambuka mu kifo ekigulumivu.