1 Samuel 9:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mu budde nga buno enkya nzija kukutumira omusajja ow'omu nsi ya Benyamiini. Musiige omuzigo, abeere omukulembeze w'abantu bange Yisirayeli; y'alinunula abantu bange mu mikono gy'Abafilisitiini. Kubanga ndabye abantu bange; okulaajana kwabwe kutuuse gye ndi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Enkya ku ssaawa nga zino nzija kukusindikira omusajja okuva mu nsi ya Benyamini. Mufukeeko amafuta okuba omukulembeze w’abantu bange, Isirayiri; oyo y’alirokola abantu bange okuva mu mukono gw’Abafirisuuti. Ntunuulidde abantu bange; okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Enkya nga mu kiseera kino nnaaweereza gy'oli omusajja ava mu nsi ya Benyamini, era olimufukako amafuta okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri. Ye y'alirokola abantu bange mu mukono gw'Abafirisuuti; kubanga ntunuulidde abantu bange, kubanga okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Enkya mu kiseera nga kino, nja kuweereza gy'oli omusajja okuva mu kitundu kya Benyamiini. Onoomufukako omuzigo, abe omukulembeze w'abantu bange Abayisirayeli, era ye alibaggya mu mikono gy'Abafilistiya, kubanga ndabye okubonaabona kw'abantu bange, era okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Enkya nga mu kiseera kino nnaawereza gy'oli omusajja ava mu nsi ya Benyamini, era olimufukako amafuta okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri, era ye alirokola abantu bange mu mukono gw'Abafirisuuti: kubanga ntunuulidde abantu bange, kubanga okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi.