1 Samuel 9:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli bwe yalaba Sawulo, Omukama n'amugamba nti: “Oyo ye musajja gwe nakugambyeko; y'oyo anaafuga abantu bange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Samwiri olwalengera Sawulo, Mukama n’amugamba nti, “Omusajja gwe nakutegeezezzaako wuuyo. Oyo y’ajja okufuga abantu bange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samwiri bwe yalaba Sawulo, Mukama n'amugamba nti, “Laba omusajja gwe nnakugambyeko! Oyo ye aliba n'obuyinza ku bantu bange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Samweli bwe yalaba Sawulo, Mukama n'amugamba nti: “Oyo ye musajja gwe nakugambyeko. Oyo ye alifuga abantu bange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samwiri bwe yalaba Sawulo, Mukama n'amugamba nti Laba omusajja gwe nnakugambyeko! oyo ye aliba n'obuyinza ku bantu bange.