1 Samuel 9:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'ayanukula Sawulo nti: “Nze mulabi; nkulemberaamu oyambuke eri ku kifo ekigulumivu, kubanga leero ojja kulya nange ate enkya nkuleke ogende, na byonna ebiri mu mutima gwo nzija kubikwoleka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Samwiri n’amuddamu nti, “Nze mulabi, nkulemberaamu nga twambuka mu kifo ekigulumivu, kubanga leero onooliira wamu nange, enkya ku makya nzija kukuleka ogende era nzija kukubuulira ebyo byonna ebiri ku mutima gwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Samwiri n'addamu Sawulo nti, “Nze mulabi. Nkulemberamu tugende mu kifo ekigulumivu, kubanga mujja kulya nange olwaleero. Enkya ku makya nnakubuulira ebyo byonna ebiri mu mutima gwo, ndyoke mbasiibule mugende.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Samweli n'agamba Sawulo nti: “Nze mulabi. Nkulemberaamu tugende mu kifo ekigulumivu, kubanga mujja kulya nange olwaleero. Enkya ku makya nnaakubuulira ebyo byonna ebiri mu mutima gwo, ndyoke mbasiibule mugende.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Samwiri n'addamu Sawulo n'ayogera nti Nze mulabi; yambuka okunkulembera mu kifo ekigulumivu, kubanga munaalya nange leero: awo enkya naakusiibula, ne nkubuulira byonna ebiri mu mutima gwo.