1 Samuel 9:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yalina mutabani we ayitibwa Sawulo, nga muvubuka mulungi, atalina amwenkana bulungi mu bantu ba Yisirayeli, mu buwanvu ng'asooloobye ku bantu bonna okuva ku kibegabega okudda waggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yalina mutabani we erinnya lye Sawulo, nga mulenzi alabika bulungi, era nga tewali amwenkana obulungi mu bantu ba Isirayiri, nga muwanvu okusinga abantu bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kiisi yalina mutabani we erinnya lye Sawulo, omulenzi omulungi, era mu baana ba Isiraeri bonna temwali muntu eyali amusinga obulungi mu ndabika; okuva ku bibegabega bye okudda waggulu, yali asinga abantu bonna obuwanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kiisi yalina mutabani we, erinnya lye Sawulo, nga musajja mulungi nnyo mu ndabika ye, era nga muvubuka. Mu ndabika, tewaali amusinga bulungi mu Bayisirayeli bonna. Okuva ku bibegabega bye okudda waggulu, yali asinga abantu bonna obuwanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era yalina omwana, erinnya lye Sawulo, omulenzi omulungi: so mu baana ba Isiraeri temwali muntu eyamusinga obulungi: okuva ku bibegabega bye n'okwambuka yasinga abantu bonna obuwanvu.